Ekittavvu ky’eby’ettaka; kaliisoliiso atandise okunoonyereza ku ngeri gye kikozesebwamu
Wofiisi ya Kaliisoliiso wa government etandiise okunoonyereza ku kakiiko k’e by'ettaka ka Uganda Land commission na ngeri ki sente z’ekittavu ky'e ttaka Land fund bwezikozesebwa. Tukitegedde nti wazze wabaawo okwemulugunya ku mivuyo egyetobese ku ttaka nga kigambibwa nti abakulu mu kitongole kino beetaba mu kutunda ettaka ely’empewo, obukuluppya mu kufulumya ebyapa saako n’emivuyo emirala. Okunoonyereza kusuubirwa okukulungula ebbanga lya myezi ebiri.