Ekiwekweto ku bamansa kasasiro e Kawempe kitandise
Oluvanyuma lw’ekitongole ki KCCA okufuna ekifo eky’enkalakkalira we kiyiwa kasasiro e Buyala mu disitulikiti ye Mpigi, kitubuulidde nti kigenda kutandika ebikwekweto ku bamansa kasasiro naddala mu myala.Balagidde ne kampuni ezikung’anya kasasiro okusala ku nsimbi zezisaba abatuuze , okuva ku nusu emitwalo esatu buli mwezi zikke okutuuka wakati we nkumi etaano ne nkumi esatu.Bino babyogeredde kawempe bwe baabde batongoza enkola y’okweyonja,eyenyigirwamu n’abatuuze.