Ekizimbe kikutte omuliro e Mbale, ababadde bakisulako tebasigazza kantu
Mu Kibuga Mbale, Abantu ba famile 4 basigadde mu maziga oluvanyuma lw’omuliro okusanyawo ebintu byabwe. Omuliro guno gukutte ekizimbe ekyemyaliriro ebiri ku bishop Wasike road mu division ya Industrial city era kalina eyokubiri ewabadde wasula abantu wewakutte omuliro. Tekinategerekeka kivuddeko muliro guno.