Emboozi y’omubaka David Kabanda
Omubaka wa Kasambya David Kabanda ali mu kisanje ekisooka ng'omubaka, kyoka agamba nti nga kyajje ayingire palamenti bangi ku banne baali bamwekengera nga bamuyita mbega kino nga kiva kunkolagana ye ne sipiika wa palementi sako n’abakulembeze abalala.Tubaddeko mumboozi y’akafubo ne Kabanda ono atuula mu ntebe za ba minisita mu ntuula za palamenti ate nga ssi minisita, okumanya entambuza ye ey’emirimu.