EMIVUYO MU KULONDA KWA NRM: NRM egamba tegisaanye kunenyezebwa ku kibiina wabula bassekinnoomu
Abakulu mu kibiina ki NRM bagamba nti emivuyo egyeyolekedde mu kulonda okuzze kubaawo tegisaanye kunenyezebwa ku kibiina kyonna, wabula abantu ssekinoomu .Kyokka bano bamativu nti ekibiina kyeyongedde okunyweza emirandira gyakyo okuviira ddala ku byalo olwabakulembeze abaalondeddwa .Yo mu kibuga Masaka abaayo babadde mu kwemulugunya ku munnamagye Hassan Ssamba gwe bagamba nti yali emabega w’emivuyo egyabadde mu kalulu mu kitundu kino yadde ng’ono bino abisambazze .