Empeera y’okusiibulula abalala: wuuno abadde asiibululula abatalina byakulya mu ghetto
Wadde ng'empagi y'okusiiba nkulu nnyo mu ddiini y'obusiramu, tukimanyi nti ate Allah agaba nnyo empeera ku bantu abafaayo okusiibulula bannaabwe, na ddala abo abatalina. Kakati ne mu nzigotta eyo ggwe gy'oyita Ghetto, waliwo abantu abasiiba naye nga bakikolera mu bugubi kubanga batuuka n'okusiibulukuka ng'ekyokulya tebalina. Wabula waliwo muzira-kisa eyasalawo ye asiibululenga abavubuka bano era buli kawungeezi bakungaanira ewuwe okulya ekijjulo ekiyitibwa futaali.