EMYOOGA E KITAGWENDA: Abagyettanidde bagamba nti kati bafuna bukadde
Enteekateeka ya government ey’emyooga bangi naddala abakyala mu district y’e Kitagwenda bagyenyumirirzaamu olw’engeri gy’ekyusizaamu obulamu bwabwe nga kati benogera ku nnusi era tebakyegayirira basajja. Abamu ku bano bakozesezza sente z’emyooga okwetandikirawo business y’okukola wine era kati bafuna bukadde buli mwezi. Herbert Kamoga yalina ebisingawo.