Enkola ey'okuggya abavubuka mu bwavu eyatandikibwa State House yaakubunyisibwa eggwanga
Akulira ebyensimbi mu maka g'omukulembeze w'eggwanga Jane Barekye agamba nti baakutalaaga eggwanga nga bagabira abavubuka n'abakyala ebintu byokwetandikirawo emirimu n'ekigenderererwa ky'okubayamba okweggya mu bwavu. Barekye agamba nti enkola eyokugabira abavubuka ssente enkalu teyavaamu nnyo bibala nga yensonga lwaki kati basazeewo kubawa bintu omuli ebyalaani, ebyuma bya saluuni, obuuuma obukuba emberenge n'ebirala. Bino byonna bikolebwa wansi w'enteekateeka gye batuuma Youth Wealth Creation eri wansi wamaka g'omukulembeze w'eggwanga.