Enkuba esse omu nga yagwa mu mwala omulambo negubula
Abatuuze be Natete mu Kampala Central Zone basobeddwa oluvanyuma lwamutuuze lwa munnaabwe ayitibwa Abdul Sempala okugwa mu mwala wakati mu nkuba ebadde efudemba wabula n'okutuusa kati omulambo gwe negubabula.Sempala banne bagambanti amazzi gaamutwala ku Lwamukaaga wabula basagudde ensiko okuzuula waali nga buteerere.Abakulembeze mu kitundu kati baagala gavumenti ebaweereze ebimotoka bi wetiiye basobola okufuna omuntu waabwe bagende bamuziike.