Alipoota ku bwenkanya eraga abalamuzi abalyake babuzibira
Alipoota empya ku bwenkanya eraga nti abalamuzi bangi abasaba abavunaana n'abavunaanwa ensimbi okusobola okusala emisango nga gyeekubidde waabwe, oba oli awo ekiviiriddeko abantu bangi okwewala kkooti nga balowooza nti omwavu tasinga musango. Bino bizuuliddwa ekitongole ki Afro-barometer era nekikkaatiriza nti buli mwaka essiga eddamuzi lyongera okwennyika mu buli bw’enguzi ekindezeezza ku bw’enkanya obusaanye okuweebwa abadduukirayo. Kati bano balowooza nti singa gavumenti eyongera okubunyisa enkola y'okuteeka ebikwata ku misango gy'abantu ku mutimbagano kijja kusobozesa okuleetawo obwerufu.