Ssekikubo alabudde bannamagye ku lukung’aana lwa begumisa e Sembabule
Buli lukya, ebbugumu ly’eby’obufuzi lyeyongera mu disitulikiti y’e Sembabule. Omukolo gw’abakyala ogwategekeddwa omubaka omukyala owa disitulikiti eno Mary Begumisa, gwasanikiddwa eby’obufuzi nga wano omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo yalangide bannamaggye okwenyigira mu kalulu era n’abalabula nga naye bwabetegekedde kasita kkampeyini zitandika.