Emmotoka ennene zigaaniddwa ku luguudo olugenda e Bundibugyo, lubomose
Disitulikiti ye Bundibugyo eyimirizza Mmotoka ennene okukozesa Oluguudo oluva e Fort Portal okudda e Bundibugyo oluvannyuma lw’ekitundu kyalwo okwongera okubomoka. Oluguudo luno lwagwamu omwaka oguwedde olw’okuyigulukuka kw’ettaka okwali mu kitundu ky’e Ddumba wabula nga wetwogera nga n’ekitundu ekibadde kikyakozesebwa ebidduka kyongedde okukkamu ekyeraliikirizza abatuuze. Ab’emmotoka ennene kati balina kukozesa oluguudo oluyita e Ntandi Kikyo okutuuka e Kyamukube nga luno lweyongeramu kilometer endala 30.