E Kamuda e Soroti abembuto bangi bettanira bamulerwa
Ku kyalo Olobai ekisangibwa mu Ggombolola y’e Kamuda mu district y’e Soroti, abakyala ab’embuto ekinene ennyo banywa eddagala mu ddwaaliro emirundi esatu n’abamu obutagenderayo ddala. Wabula, omukyala okutuuka okuzaala, yandibadde agenze mu ddwaaliro emirundi munaana. Bangi ku bakyala bano batambuza bigere kilomita ezisukka mu 6 okugenda mu ddwaaliro lye bagamba eriri okumpi. Olugendo, obwavu n’abasajja abateefiirayo biwalirizza abakyala bano okuteeka obulamu bwabwe mu mikono gya bamulerwa newakubadde gavumenti yabawera. PATRICK SSENYONDO y’abaddeko mu bitundu bino salina ebisingawo.