OKUVUGANYA MU BYA SSAAYANSI: Abayizi ba Kings College bavuddeyo na buwanguzi mu kw’ensi yonna
Abayazi b'essomero lya Kings College Budo, bavuddeyo na buwanguzi mu kusindana mu byassaayansi okw'ensi yonna okwayindidde mu ggwanga lya Greece. Okuvuganya kuno Okuyitibwa The International Science Olympiad abayizi baweebwa omukisa okugezesa ebyo bye baba basomye mu kibiina. Abakulira essomero lino bagamba nti ensoma empya yabayambye nnyo mu mpaka zino ezeetabiddwako abayizi okuva mu masomero ga siniya mu mawanga agenjawulo.