Wuuno Olivia Nabukenya ayamba banne okufuna ssente mu ndokwa z’emiti
Mu district y’e Masindi, eriyo omukazi Olivia Nabukenya, eyatunuulira okusomooza bakyala banne kwebali bayitamu nasalawo abatandikirewo enteekateeka mwebayiinza okufuna ku ka sente akababezaawo. Ono yatandika kusimba ndokwa z’emitti zalowooza nti gwali mulimu mwangu omukazi yenna gwayiza okukola nasobola okwebezaawo n’amaka ge.