Enkulungo mu Kampala; KCCA eziggyewo, egamba kigendereddwamu kugonza ntambula
KCCA etegeezezza nti ebitaala by’okunguudo ebiri mu kuteebwa ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala byakutandika okukola mu butongole ku nkomerero y’omwaka guno. Mu kwogerako ne NTV, omwogezi wa KCCA, Daniel Nuweabine, agambye nti eky’okuggyawo enkulungo ez’enzawulo mu Kampala kigendereddwamu kukeendeeza ku mugottoko gw’ebidduka kwassa okuteeka ekibuga mutindo ogusaanidde.