Ensala enaaba etuukiddwako ku by'okwemulugunya ku kamyufu yaakusindikibwa ku e-mail
Akakiiko akatekebwawo omukulembeze we ggwanga okuwuliriza okwemulugunya okuva mu kamyufu ku mutundera gw'ababaka ba Palamenti leero kakomekereza emirimu gyako , nga kakati ekisigalidde kwekuwa ensala yaako ku misango gyekasooka okuwulira. Akakiiko kano kaakawulira emisango 381, kyoka batubuulidde nti abawaaba nababawawaabirwa bakubaweereza bubaka mu nkola eya Email - okubategeeza ensala enaaba etukiddwako mu misango gyabwe.