Minisita Amongi agamba ebiweebwayo mu masinzizo bisobola okussibwa mu birala ebigasiza awamu
Kizuuse nti bannayuganda bantu bakisa nnyo eri Amakanisa, Kelezia n’emizigiti, ng’eno basobola okuyiwaayiwayo ensimbi zebamanyi nti tezirina kyezigenda kuzza kyokka bwe babatuukirira ku bintu ebibagazisa awamu olwo nebeebulankanya nga abatazirina. Bino byogeddwa minisita w’ekikula ky’abantu n’abakozi Betty Amongi nga agamba nti ne ku bintu ng’embaga n’ennyimbe, abantu bawaayo nnyo, kyokka tebasobola kusondera bintu ng’ebyenjigiriza oba eby’obulamu.