Ensoke eyakuba e Kalangala: Abaakosebwa gavumenti tebayambanga
Abatuuze b’e Kalangala wamu n’abakulembeze, ssi basanyufu ne gavumenti olw’okubasuubiza ebyoya by’enswa bwe baalumbibwa ensoke nebonoonera kumpi buli kimu emyezi ebiri egiyise.
Bano bagamba nti abakulu bwe baabakyalirako, baabasuubiza nga bwe bagenda okubaleetera obuyambi kyokka oluvannyuma lw’emyezi ebiri, mpaawo kyali kikoleddwa nga abakulu bafuuse kyesirikidde nga muzigo mu ttimpa.