ENSONGA ZA MPUUGA TWAZIMALA: Ssenyonyi agamba kati ekibiina kyolekedde birala
Omwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Ssenyonyi, agamba nti ensonga z’abadde amyuka akulira ekibiina kino mu Buganda Mathias Mpuuga ey’okumuwummuza ku buvunaanyizibwa buno, bagikutte bulungi era bagimalirizza.Agamba nti kati obwanga bagenda kubwoleekeza ku nsonga ndala ezitwala ekibiina mu maaso nga okwongera okutalaaga ebitundu by'eggwanga ebirala. Ssenyonyi, agamba nti Mpuuga si y'asoose okuwummuzibwa ku buvunaanyizibwa bwe mu kibiina.