ENVUMBO KU GEN. ELWELU: UPDF egamba tezikosa nkolagana yaabwe na Amerika
Amagye gategeezezza nti envumbo ezaatereddwa eggwanga lya Amerika ku yali amyuka omuduumizi w'amagye LT Gen Peter Elwelu nga kati muwabuzi wa Pulezidenti ssi zaakukosa nkolagana yaago ne eggwanga lya Amerika. Amyuka omwogezi w'amagye Col Deo Akiiki, agamba ne Elwelu ssiwaakukosebwa kuba tayina nsonga eyinza mwetaagisa kugenda mu Ggwanga ly'Amerika.