ETTIMA: Waliwo ababbye ebisigalira by’abafu 30
Ku kyalo Kigoogwa mu Gombolola ye Gombe waliwo abantu abatanategerekeka abakakkanye ku kiggya okwaziikwa abantu abasoba mu 30 nebakisimula, ebisigalira by’abagenze ne bakuliita nabyo.
Kiteberezebwa nti ebyaleetedda abagenzi bano okuziikulwa byekuusa ku nkayana za ttaka, kyoka nga abaakikoze mpaawo yabategedde, newankubadde aboluganda baliko banaabwe bebalumiriza okubeera mu lukwe luno.