Eyafuntulwa DPC agakonde ayagala bwenkanya
Omusajja eyalabikira mu katambi ng'omuserikale wa poliisi amukuba ekikonde ku bbalaza ya sabiiti ewedde, atubuulidde nti ali mu ntekateeka ezimutwala mu mbuga z'amateeka amubuulire ekyamukubya. Omusajja ono gwetutegedde nga ye Nichols Ssemwanga atugambye nti keyategedde omuserikale eyamukuba nga ye Hassan Hiwumbire aduumira Poliisi ye Wandegeya ayagala ensonga bazimalire mu kkooti.Mungeri y'emu tuwayizaamu ne Geoffrey Ongima amanyiddwa nga High Tower egamba nti poliisi yamumenya eggumba ly’ekigere, n'awera nti mpaawo kigenda kumujja ku mulamwa gwa kibiina ky'awagira ki NUP.