Eyatuula ebya S.4 nga talina mikono ezimwongerayo zibuze
Omuvubuka John Kakama atalina mikono gwetwakulaga nga ayise ebibuuzo bya S.4 ku Kigezi High School e Kabaale, tukitegedde nti asemberedde okuwanduka mu ssomero, anti abavujjirizi ababade bamuwerera baabijeemu enta.Omwana ono abadde aweererwa ba Compassion International , kyoka olw’okuba asussizza emyaka 22 egy’obukulu tebakyayinza kumuwerera.Kati asaba abazzira kisa okumusuula omukono atukirize ekiruubirirwa kye eky’okufuuka munnamateeka.