Gavumenti esuubizza okugaziya emyala egivaakoo amazzi okwanjaalira mu nguudo mu Kampala
Minisitule y'ebyenguudo etegeezezza nga bwerina enteekateeka y'okugaziya emyala egy’enjawulo mu Kampala egivaakoo amazzi okwanjaalira mu nguudo ezimu. Okusinziira ku Andrew Kyambadde nga Yinginiya mu minisitule eno waliwo emyala egitatuukana na mutindo gw'enguudo ezikoleddwa egiviirako amazzi okwanjaala mu nguudo z'omu Kampala.