Gavumenti eyogedde ekiddako oluvannyuma lw’ebbanga okuggwako
Ebbanga gavumenti lyeyayirimirizaamu enkola ya EPS Auto ng'eno yalimu okukozesa kkamera z'okunguudo okubonereza abamenya amateeka g'ebidduka lyaweddeko ggulo, era nga mu kiseera kino bangi babadde balinda okumanya kiki ekiddako.Kati okusinziira ku bakulu mu minisitule y'ebyentambula enkola eno yakugira ng'eyimiriziddwa nga gavumenti bweyongera okutunula mu kwemulugunya kwabannayuganda omwali n'abavuzi b'emmotoka z'olukale. Omwogezi wa Minisitule eno Susan Kataike agamba nti abakugu baabwe bakyekeneenya ebimu kwebyo ebyemulugunyizibwako omuli n'eky'okuvuga sipiidi 30.