Gen Katumba Wamala alabudde bannabyabufuzi okukomya okwesojja
Minisita w'ebyentambula era eyaliko omuduumizi w'amaggye ge ggwanga Gen Katumba abuulidde banabyabufuzi nti bagwana okukoma ku nkola ey'okwesojja nokweyogerera ebisongovu mu kadde kano ak'okulonda kwa 2026 okusemberedde.Katumba agamba nti enkola eno kyangu kya kuleetawo busambattuko obuyinza n'okuvaamu okuyiwa omusaayi.Bino katumba abyogeredde ku Duwa ya Makumi 40 ey’okusabira omwoyo gw’omugenzi, Omuzaana Sarah Namusisi Kakungulu eyali maama womulangira Kassim Nakibinge, e Kibuli.