Gen.Tumukunde awabudde ab’e Mubende okwetegereze abakulembeze
Munnamagye eyaganyuka Gen.Henry Tumukunde accomeedde banna byafuzi abasusse okusubiiza abaloonzi ettaka n'omusenyu mubiseera byokuwenja akalulu kyokka olumala okubaloonda nebafuuka Nnampulira zzibi nga nabamu byebasubiizza tebisoboka ekibavirako okuyiwa abaloonzi.Tumukuunde okwogera abadde aggulawo olusisira.lwebyobulamu mu gombolola ye kayebe e Mubende olugeenda okumala ennaku nga abantu mu Buwekula South bafuna obujanjabi kubwerere.