Abakwate mu ogw’okutta Joan Kagezi balina okwewozaako ku gy’obutujju
Kkooti enkulu ewozesa bakalintalo ekakasasizza emisango gy'obutujju egyaggulwa ku basajja bana abaakwatibwa ku byekuusa ku ttemu eryakolebwa ku yali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi mu mwaka gwa 2015Okukakasa emisango gino kiddiridde okwetegereza obujulizi obwaweereddwayo oludda oluwaabi nga buluma abana bano okuli Daniel Kisekka Kiwanuka, John Kibuuka Nasur Abudahllah Mugonole ne John Masajjage.Omulamuzi Alice Komuhangi Kaukha alagidde bano batandike okwewozaako.