Jildo Irwa ne Daudi Okello, baabano abajjulizi abafiiririra eddiini mu mambuka ga Uganda
Waliwo abajulizi babiri (Daudi Okello ne Jildo Irwa) abateeberezebwa okuba nga baali wakati w’emyaka 14 ne 16 abaatandika okusomesa eddiini ku myaka emito ate ne bagifiiririra ku ntandikwa y’ekyasa eky’amakumi abiri.Bano baali Bacholi nga n’okutuusa kati Ebitundu by’omu bukiikakkono bwa Uganda bakyabeenyumirizamu. Ettutumu lyabwe lyatuuka ne mu South Sudan, Kenya, Tanzania ne Congo.Ekifo we battirwa kyafuuka kya byafaayo era olunaku lwe battibwa lujjukirwa buli mwaka. Abakkiriza bakungaanira mu kifo kino kumpi kufaananako nga abakungaana e Namugongo.