Joseph Oloo aboolebwa lwa kukuzibwa nnyina atamuzaala
Mu mwaka gwa 2001, waliwo omwana omuwere eyazingibwa mu kaveera ng’asuuliddwa ku kkubo lya Kitante okumpi ne Golf course wano mu Kampala.
Abayise be baamuzuula era oluvannyuma n’afuna eyamutwala mu mateeka okumwola. Omwana ono gwe yatuuma Joseph Oloo kati aweza emyaka 23 kyokka ayolekedde okusuulibwawo omulundi ogwokubiri oluvannyuma lw’abooluganda lw’omukyala eyamwola okumuboola ne batuuka n’okumumugobya. Eyamwola mutuuze ku kyalo Atoni ekisangibwa mu district y’e Kole nga mu kiseera kino ebirwadde by’obukadde bimubala embiriizi.