Katikkiro agamba omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi kumpi guwedde
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agumizza obuganda nga omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi agayokebwa omuliro bwegunaatera okujjibwako engalo akadde konna. Olwaleero ono alambudde omulimu gw'okuzzaawo amasiro gano nga bwegutambula n'akakasa nnti ebisinga obungi biwedde.