Kawaali w’enkima ayongedde okusensera abantu mu disitulikiti y’e Lyantonde
Wabaluseewo obweraliikirivu mu district ye Lyantonde olw'omuwendo gw'abantu abafuna ekirwadde kya Kawaali W'enkima okweyongera. District ye Lyantonde yaakafiirwa abantu babiri wabula nga Kati mu kiseera kino erina abalwadde 778 okusinziira ku bakulira eby'obulamu mu kitundu kino.