Ssente z’okuggyayo Empapula :Akakiiko k’obwenkanya katadde ebibiina by’obufuzi ku nninga
Abakulira akakiiko akalera obw’enkanya ka Equal Opportunities Commission batadde ebibiina by'obufuzi ku nninga binnyonnyole lwaki byawanise ebisale ebisasulwa abaagala okuvuganya ku bifo eby'enjawulo mu bumyufu bw'ebibiina. Bano bagamba nti ensimbi zino zirabise okulemesa naddala abankuseere , abakyala n'abavubuka okweyagalira mu by'obufuzi by'eggwanga.
Bino babyogeredde mu nsisinkano n’abateekateekera ebibiina by’obufuzi mu kaseera kano ng’eggwanga lyetekerateekera okulonda kwa 2026.