Ssenyonyi awandiikidde kaliisoliiso, ayagala kunoonyereza ku ssente z’okwekubako enfuufu
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi, awandiikidde kaliisoliiso wa gavumenti ebbaluwa ng'amusaba anoonyerezze ku nsimbi obukadde ekikumi ezigambibwa nti zaaweebwa abamu ku babaka palamenti. Ssenyonyi ayagala okumanya ssente zino gyezava, baani abaazifuna era zaali za kigendererwa ki. Ono agamba kino akikoze okusomooza kalisoliiso wa gavumenti azze akubiriza abantu babulijjo okuvaayo okwenyigira mu lutalo lw'okulwanyisa enguzi nga bamutuusako amawulire agakwatta ku muze gun