KCCA eyongedde okubangula bannakyewa kubujama mu kibuga
Bannakyewa ba KCCA abakola kubyobuyonjo bwa Kampala basabye KCCA wabeerewo okusomesa abantu ku ngeri gyebakunganyamu kasassiro mu bitundu gyebabeera, n’okusaba abakulembeze okukomya okubeera obubeezi mu woofiisi zaabwe wabula bajje bakolere abantu. Nankulu wa kampala Dorothy Kisaka agamba bali mukaweefube w’okunoonya ettaka eritali nnyo mubantu ate nga teryesudde nnyo kibuga kampala , webanaasobola okuyiwa kasassiro abatuumyeko mu kibuga.