Luyimbazi Nalukoola akwatiddwa nga ava okusunsulwa
Wabadewo obukenke mu kKawempe North nga ab'ebebyokwerinda batangira abawagizi ba Luyimbazi Nalukola eyesimbyewo ku kaadi ya NUP okugenda ku kisaawe ky'e Mbogo gyebabade bategese olukukagana.Ono atuuse n'okufuna oluwenda oluddukira ku boda-boda wabula abajaasi ba JAT bagifubutudde nebamumaamulako. Poliisi etubuulidde nti bano ebadde tebawadde lukusa kukola bye babadde bakola n'okukuba olukungaana.