Luyimbazi Nalukoola yeegatiddwako ebibiina ebirala okuwenja akalulu
Leero bannabyabufuzi okuva mu bibiIna ebirala eby’oludda oluvuganya okuli ekisinde ki PFF ekikulemberwa Erias Lukwago n'ekibiina ki ANT beegasse ku Luyimbazi Nalukoola owa NUP okusaggulira obuwagizi.Ne leero poliisi ekolaganye bulungi ne banna NUP ng'oggyeko okubagukira okuyitira mu nguudo eziriko ebidduka ebingi. Enkya lwe lunaku olusembayo abeegwanyiza okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North okumatiza abalonzi.