Maama w’omusibe Yasin Ssekitooleko atutte Bobi Wine amuperereze alye
Pulezidenti w;ekibiina ki NUP Robert kyagulanyi Ssentamu wamu ne Aisha Kabanda maama w’omusibe Yasin Ssekitooleko amanyiddwa nga Machete, balemereddwa okumukkirizisa okuyimiriza akediimo kaaliko ak’obutalya ng’agamba nti ye kino akikola kufuna bwenkanya ensonga ye esobole okuwulirwa.Olwaleero Kyagulanyi n’abamu ku b’oluganda lw’abasibe abalala batuseeko mu kkomera e Luzira okulambula ku basibe bano saako n’okwogerako ne Yasin Ssekitooleko eyasalawo okuzira emmere mu ngeri y’okwekalakaasa nga alaga obutali bumativu ku ky’okubakuumira mu kkomera awatali kiragiro kya kkooti kyonna okuva kkooti ensukkulumu lweyajungulula emirimu gya kkooti y’amagye eyabasibira ku biragiro.