Mpuuga agamba kyetaagisa okwogereza abali mu buyinza
Akawanaganya emirimu gy’ekisinde kya Demoocratic Alliance Mathias Mpuuga, ayagala okulaba nga wabeerawo okwogerezeganya wakati wa bannabyabufuzi okusobola okukyusa obukulembeze mu mirembeMpuuga agamba nti okwogeza n'okusiga obukyayi biyinza obutayamba mu mbeera eno Ngayogerako mu lukungaana lwabamawulire mpuuga ayongedde okutaanya ensonga omukaaga ze baagala okussaako essira mu kukola ennongoosereza mu mateeka g'ebyokulonda.