Munnamateeka Eron Kiiza ayogedde ekyamutanudde okwambalira balooya ba kkooti y’amagye
Munnamateeka Eron Kiiza eyattunse ne bannamateeka ba kkooti y’amagye olunaku lw’eggulo Dr Kiiza Besigye ne Obeid Lutale bwe baabadde baleeteddwa okusomerwa emisango, agamba ekyamuggye mu mbeera kyavudde ku kkooti eno kubamalako ddembe lyabwe nga bannamateeka ng'ebakaka kusooka kusaba kkooti eno lukusa okuwolereza abakwate.Agamba nti bannamaggye bebalina okuwa abantu ba bulijjo ekitiibwa, sosi bannamaggye okubakinako nga bannamateeka , okutuuka okutyoboola n’eddembe lyabwe mwe bakolera.Kyokka agamba nti newankubadde byonna baabyogedde, mu kooti eno tasuubiramu bwenkanya.