Munnamawulire wa Daily Monitor afiiridde mu kabenje
Eyaliko munnamawulire wa daily Monitor Risdel Kasaasira afiiridde mu Kabenje ka Mmotoka akagudde e Lyantonde olwaleero. Poliisi egamba akabenje kano kavudde ku kuvuga ndiima. Motoka eno ebadde evugibwa mukyalawe mwebabadde n’abaana baabwe babiri. Omukyala n’abaana basimatusse nga baddusiddwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi.