Museveni akunze ab’e Kakumiro okwettanira ennima ey’omulembe
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni ategeezezza nga gavumenti bwegenda okugabira abalimi endokwa zemmwanyi obutereevu oluvannyuma lw'ekitongole kyemmwanyi ki UCDA okusattululwa. Museveni abadde mu disitulikiti ye Kakumiro gyatongolezza enkola ya 4 acre Model ey'okulimira ku ttaka ettono wabula ng'efuna kiralu Ono agamba nti n'ababaka ba palamenti baakuweebwa endokwa zemmwanyi basobole okubeera eky'okulabirako eri abalonzi baabwe mu nnima eno .