Museveni alagidde ssabaminisita okuliyirira Namwandu w’omugenzi Gen Aronda Nyakayirima obuwumbi 11
Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde ssabaminisita Robina Nabbanja okuliyirira Namwandu w’omugenzi Gen Aronda Nyakayirima obuwumbi 11 asobole okukomya okugobaganya abantu ku ataka ly’alumiriza nti lirye nga lino lisangibwa mu gombolola y’e Gayaza e Kyankwanzi.Kino kiddiridde Namwandu Patricia Alinda Nyakairima okugaana abatuuze okuziika ku ttaka lino, ekiwaliririzza omukulembeze okuyingira mu nsonga zino.Ettaka okuli enkayana liriko obugazi bwa square miles ssatu.