MUZIBE EYEEWUUNYISA : Wuuno eyeetambuza yekka okuyita mu kavuyo k’ekibuga
Omuntu alina amaaso kizibu okumanya n’okutegeera engeri omuzibe w’amaaso gy’alabamu ensi n’engeri gy’atambuzaamu obulamu.
Tuliko omuzibe w’amaaso gwe twetegerezza okumala ennaku ng’atambula mu kkubo n’okusala enguudo mu kibuga omuli ebidduka eby’enjawulo nga taliiko amuyambako ne twagala okumanya engeri gy'akikolamu.
Patrick Ssenyondo kino akiwadde obudde era kaatumalireyo olutabaalo luno.