Mwetegeke okusiga: Ab’ebyobulimi bawadde abalimi essuubi
Okusinziira ku ministry y'ebyobulimi, sizoni y'okusiga esooka, teyali nnungi nnyo eri abalimi olwembeera y'obudde embi mu bitundu byeggwanga ebimu era amakungula gaali matono nnyo. Waliwo essuubi nti sizoni ey'okubiri yandiba yadde yaddeko okusinziira ku nteebereza y'embeera y'obudde eya Septemba okutuuka mu Decemba omwaka guno efulumiziddwa ekitongole ki Uganda National Meteorological Authority. Abalimi bakubirizidddwa okukozesa sizoni ey'okubiri obulungi okusobola okugiganyulwamu.