Nabbanja yenyamidde engeri bannayuganda gyebagobwamu ku taka lyabwe
Ssaabaminisita wa Uganda, Robinah Nabbanja yenyamidde engeri bannayuganda gyebagobwamu ku taka lyabwe ensangi zino.Kino kiddiriddde amakka agasoba mu kikumi agagobwa ku ttaka eriweza yiika 120, nga galumiriza munnamagye omu, okubasenda nga kati bangi tebakyalina webegeka lubba nya nekyokulya bawama kiwame.Ono alagidde bano baddizibwa ku ttaka lyabwe era baweebwe n'obukuumi.