Nalukoola ne Nambi bakubidde mu musango gw’okulonda kw’e Kawempe
Kkooti enkulu ewulira omusango gw’ebyokulonda Faridah Nambi mwayagalira obuwangizi bwa Elias Nalukoola busazibwemu nga omubaka wa Kawempe North leero lwekomekkereza okuwulira okusaba okuva ku ludda lwa Nambi mu musango guno.Nambi nga ayita mu bannamateeka be alumiriiza akakiiko ke byokulonda okukola ensobi , bwekagaana okutekateeka okulonda okuggya mu bifo 14 gyekaamanya nti okulonda kwayo okwalimu emivuyo.Ono abuulide kooti nti waliwo bannakibiina ki NUP abaalemesa abantu okwetaba mu kulonda, nga abamu ku bano baali babala ba palamenti abajja nga beerimbise mu kukuuma akalulu.