NEMA esengudde abali mu kaliddubi e Busabala
Amasasi gavuze ku kyalo Kibiri A mu ggombolola ye Makindye Ssabagabo mu Disitulikiti ey’e Wakiso nga poliisi egezaako okusengula abantu ekitongole ki NEMA b'ekigamba nti beesenza mu lutobazi lwa Kaliddubi. Abatuuze bano balumiriza nti NEMA bwe yabalabula nti yaakubasengula, baddukira mu kkooti okugiwawaabira, wabula bewuunyiza okugiraba ng'ejja okubasengula nga n'omusango gukyali mu kkooti.NEMA yo bino ebyegaanye, n'egamba nti yo egumira ku kimu nti banoyabalabula dda wabula nebesisiggiriza.