NUP egenda mu kooti ku by’okulumba ebitebe byaayo
Abakulembeze b’ekibiina ki National Unity Platform bategezeza nga bwebagenda okuba ebitongole by’okwerinda mu mbuga z’amateeka olw’obulumbaganyi bwe bazze babatuusako entakera.Kino kidiride amaggye ne poliisi okulumba ebitebe bya NUP okuli eka’e Makerere -Kavule kwosa Kamwokya ne bamenya era ne babaako bye batwaala.Aba NUP bagamba nti ekyakoleddwa bwabadde bunyazi , kale nga baagala ejoogo lino kooti y’erimala.